New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

ABAKULIRA EMIRIMU MU LUBIRI LWA BBAFFE

Go down

ABAKULIRA EMIRIMU MU LUBIRI LWA BBAFFE Empty ABAKULIRA EMIRIMU MU LUBIRI LWA BBAFFE

Post by sol_drethedon on Mon Mar 25, 2013 3:57 am

ABAKULIRA EMIRIMU MU LUBIRI LWA BBAFFE

(a) Omuwanga y'asiba empombo z'omulubiri

(b) Ssebatta y'akulira abambowa bonna

(c) Mpinga (Lugave) y'akulira abambowa bonna

(d) Ssenkoole -- mumbowa ayokya abatiitiizi mu lutalo

(e) Kawuuzuumo -- y'amwa bak'embuga enviiri

(f) Nasserenga -- Mumbowa akuuma oluwanga lwa kabaka

(g) Mutamanyangamba -- Mumbowa

(h) Musigula--Kitongole ky'abambowa ekisiguukulula abakozi b'ebyambyone.

(i) Okulaalira - kwe kukwata edaalira (ebirabo) Kabaka gy'agenda okufuna Nnabagereka

(j) Kaba tabuuzibwa nti "otya" anti talina muntu gw'atya. Mukulaga obweyamo obuyinza bwa Kabaka bweyokeleramu nnyo, anti omuntu

bw'aba akola obweyamo agamba nti; "Ekirikutta ndi kitta" Wabula ennyanja n'omuliro Ko Kabaka wa kusatu.

(k) Kalyomu lye ffumbiro lya Kabaka

(l) Muk'embuga taba lubuto, aba ttu lya mugema. Omumbejja taba lubuto, azitowa

(m) Erinnya erirala erya Kabaka ye Nantawuuna-- ekitegeeza nti Kabaka tawuuna.

sol_drethedon
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum