New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

EDDAGALA EGGANDA I

View previous topic View next topic Go down

EDDAGALA EGGANDA I

Post by sol_drethedon on Sun Jan 26, 2014 6:51 pm

EDDAGALA EGGANDA

1. Omujaaja guwonya olubuto



2. Ekisubi kiwonya olubuto


3. Akeeyeeyo kati akamera mu lujja. Akeeyeeyo okakamula n'okanaaba mu mutwe negulekeraawo okukuluma n'okukubobba


4. Ebbombo oliyenga n'olinaaba mu nkwaawa. Liwonya olusu lwakaabuvubuka n'ensu endala ezeesittaza


5.Omwetango oguyenga n'onaaba newegobako ebisiraani; linaabibwa ng'oli yakava mu kkomera.


6.Kayaayaana. Okanaaba n'okamansa newookolera. Abantu bakuyaayaanira buli w'ogenda.


7. Omululuuza muti oguliko ebikoola by'oyenga n'onywa era n'owona omusujja.


8. Ekigaji kikolo ekiliko amatabi. oddira ettabi limu n'olisalasala n;oliteeka mu seppiki. Oyiwamu amazzi n'ossaku ssigiri. Bwegamala okutokota eseppiki ogisa wansi n'ewola oluvanyuma n'otulula amazzi g'ekigaji n'onywa ggama musera.


9. Bu Nnakasero bulinga nsigo za nsujju naye obumu bwefaananyirizaako amajaani. oddira ekijiiko kya ccaayi kimu (tea spoonful) n'okiteeka mu ggama y'amazzi agookya noonywa.


10. Amajaani amangi(ebigiiko nga bina) ogatabula mu mazzi agookya noonywa. Eddoboozi eriba libuze lidda bunnambiro.


11. Ensigo z'ensujju zebayita ebiryo zikazibwa, nezisiikibwa. Ziwonya endwadde nga kookolo w'ensigo z'abasajja, entunnunsi, okulongoosa enseke z'omusaayi beppo n'ebirala ebigwa mu kkowe eryo


12. Ebikoola bya ffene ne avocado bw'obifumba n'obirya biwonya ekifuba n'olukololo.


13. Ekiralankwa kifumbibwa nekinywebwa abakyala abali embuto


14. Budaala siini anywebwa ku ccaayi era awonya olubuto olwegugunga


15. Taaba omuganda ateekebwa mu mmindi naafuuweetebwa okutta ekiwuubaalo


16. Ssere awonya amabwa. Ebikoola bya ssere bikamulwa amucuuzi oguvaamu neguteekebwa ku mabwa.


17. Ebikuta by'emucungwa biteekebwa ku mmazi agookya ennyo. Omukka oguvaamu gusikibwa mu nnyindo okuwonya ssenyiga.

TO BE CONTINUED

COMPILED BY MAKUMBI KAYIIRA SOLOMON
avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

View previous topic View next topic Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum