New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

EMIKISA GYO

View previous topic View next topic Go down

EMIKISA GYO

Post by sol_drethedon on Fri Mar 22, 2013 10:19 pm

EMIKISA GYO

i. Bw'oba owaata omunwe gw'ettooke ne gwebajjula, guba gulanga nti emmere eyo ejja kulirwako ennyama

ii. Okukasuka akambe ne keegalika kitegeeza nti mu nnaku ezitali z'ewala mujja kulya ennyama

iii. Emmese okusala ng'agenda ku ddyo gy'olaga oba ojja kulyayo obugenyi.

iv. Ng'oli kulugendo n'osooka okusanga omusajja kitegeeza nti gyolaga mikisa gyokka

v. Okusooka okusanga omwana omulenzi oba omuwala atanavubuka nakyo kitegeeza mikisa myerere

vi.Enjuki okuzunga muba mujja kufuna omugenyi

vii. Ekirevu ky'omukazi mukisa. Bw'okiteeka mu lutuula oba mu kitimba kiteekwa okukwata nga muyigga.(wabula ennaku zino ebirevu by'abakazi bya jjenjeero mbu olw'ebizigo bye beemetta obutuufu bwakyo, ggwe nange)

viii. Okuyisinganya n'abatwala omulambo kiba kitegeeza mirembe na ssanyu byereere.
avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

View previous topic View next topic Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum