New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

EBIKWA EBIRALA N'EBIROOTO N'AMAKULU G'AYO

Go down

EBIKWA EBIRALA N'EBIROOTO N'AMAKULU G'AYO

Post by sol_drethedon on Fri Mar 22, 2013 10:17 pm

EBIKWA EBIRALA N'EBIROOTO N'AMAKULU G'ABYO

1. Okwekoona ku kati akayitibwa entinamuti oba empinnamuti oba enkoolimbo kitegeeza nti by'oba ogenderedde tojja kubifuna

2. Emmese okusala ng'edda ku kkono gyolaga teba mirembe

3. Gonja omubisi aleeta ekikwa

4. Okuloota omuntu eyafa ng'omukwatako oba ng'oyogera naye oba ojja kukaaba

5. Okuloota ng'oli mu ssinzizo oba ojja kulwala

6. Okuloota enseenene, ennyama, enswa, obutiko oba ojja kufiirwa

7. Okweraba mu kisiikirize kyo ofa

8. Ekisulo okukusula wansi w'eriiso oba ojja kukaaba

9. Okufuna ekibiribiri oba ojja kufuna ekizibu ng'okufiirwa oba okulwaza oba okugobwa ku mulimu.

10. Okuloota empitambi oba ojja kufiirwa omuntu

11. Okubala abantu kibaleetera okufa

12. Okutta omunya ofuna ebisiraani mu bulamu bwo n'akayimba kagamba "alitta omunya taligenda mu Ggulu" n'akalala "Munya mpaawo kye bagulanga gweriira munyale)

13. Okutta namunye(Katikkiro wa Katonda) ofa.

14. Ekinyonyi kyebayita mpaabana bwe kikaabira okumpi n'awaka kiba kizze kuleeta mawulire ag'ekikangabwa awaka awo.

15. Omukazi tayimbula ndiga efudde, addayo n'ayita bba nti "Endiga ennemye" Bw'agiyimbula aba ajja kuzaala abaana nga bafu.

16. Omukazi tabuuka mafumu g'abba, aba agamalamu emikisa.

17. Okusanga abatwala omulambo nga badda naawe gyodda kiba kitegeeza nti gy'ogenda ne gy'ova teri mirembe.

18. Okutungira olugoye ku mubiri kitegeeza ojja kwavuwala. Bagenderera kutangira baana kwefumita.

19. Okusooka okuzaala omwana omulenzi kibi, anti kategeeza nti taata w'omwana tajja kuwangaala

20. Akati ke bayita Umbrella tree kiwanuuzibwa nti katta nnyinimu. Mbu omulandira gwako bwe gulanda ne gutuuka awali ekitanda kya nnyinimu mbu olwo nga kirowoozebwa era nti kaleeta n'obwavu mu maka.

21. Omuddo gwe bayita bbuza nagwo gulina ekikwa

22. Ekibe bwe kikaaba kiba kibika

23. Akanyenyenkule bwe kakaaba kaba kabika

24. Okuloota ente nga zikutomera oba ojja kufiirwa.

25. Okuyisa enkwale mu lujja ng'eriko omutwe nnyinimu aba ajja kufa

26. Emmese okulya engoye ezitukula ziba zibika

27. Emmese okukeketa abantu ebigere ziba zibika

28. Engo okuwanuka eba ereese ebisiraani awaka

29. Ensanafu okuyingira mu nnyumba ziba zizze kubika

30 Bwe baziraba nga tezinnayingira bakasuka amalagala ku unju oba okwetolooza enju n'evvu.

31. Kaamukuukulu okuyingira mu nju oba okujja awaka aba azze kubika.

32. Bw'otta akanyonyi akayitibwa akataayi oba ojja kwavuwala

33. Akataayi okuzimba ku nju omulyango ne gutunula ebweru kiba kitegeeza bwavu mu nju eyo

34. Okwasa akasuwa ka bbumbuzzi buli ky'okwatako okyasa. (Ofuuka nabbwaga)

35. Omuyizzi okusanga akatiko ga ggudu aba tajja kutta nsolo

36. Okuloota ng'ennyanja ekutwala kitegeeza ojja kusanga bizibu

37. Okusanga omuntu ow'ekigere omutali kinnya kitegeeza nti by'ogenderera tojja kubifuna

38. Enjuki okugwa mu maaso go nga yeegalise --- bizibu gy'oli

39. Omusajja ow'enkala ( mpaali) aba wa kisiraani. Ono ye mwana omulenzi azaalibwa ng'obusajja bwe bulinga obukomole

40. Omwasi kitegeeza nti ky'obadde okola tekikyasobose. Edda kabaka bweyabangako ky'ayogedde omuntu n'ayasimula ng'omuntu oyo bamusalako ennyindo, amakulu nga ayagala guziyiza ntegeka za Kabaka, ng'aba nga alidde mu nsi ye olukwe.

41. Waliwo ebika ebimu ebyogerwako nti bya bisiraani ng'empeewo

42. Endiga okukaaba nga bagenda okugisala eba erina ky'eranga; bagitta bussi

43. Enviiri okukuva ku mutwe kitegeeza nti awo waliwo omuntu omubi

44. Bw'olya omuziro gwo obutuka; bw'olya akabbiro ko ofa

45. Okuloota emisota oba n'alabe bangi

46. Okwesiba ekyayi muzadde wo afa

47. Okulya kasooli amenyekedde mu kikuta -- muzadde wo afa; baayagala abantu babeere beegendereza.
avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum