New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

EBIWANUZIBWA/ENDOWOOZA MUNZIKIRIZA Y'ABAGANDA EMIKISA N'EBIKWA

View previous topic View next topic Go down

EBIWANUZIBWA/ENDOWOOZA MUNZIKIRIZA Y'ABAGANDA EMIKISA N'EBIKWA

Post by sol_drethedon on Fri Mar 22, 2013 10:06 pm

EBIWANUZIBWA/ENDOWOOZA MUNZIKIRIZA Y'ABAGANDA
EMIKISA N'EBIKWA

Nazzikuno bajajja ffe balina endowooza ezenjawulo ku bintu ebibaawo nga sibyabulijjo

EBISIRAANI/EBIKWA

1. Okukeera oba okusooka okusanga omukazi kiba kitegeeza nti akukubye omutwe omubi era olunaku olwo luba terujja kukugenderas bulungi.

2. Okusanga embwa ng'oliko olugendo lw'ogendako, kyoba ogenderera oba tojja kukifuna. Embwa bw'ekunkumula amatu osaana okome awo nti oyinza n'okufunirayo ebizibu.

3. Kaamukukulu okusala oluggya -- Nnyinimu afa

4. Enkoko okukookolima ekiro( Ng'obudde mw'eteekwa okukookolima tebunatuuka) eba ebika nnyinimu era bagisala ne bagirya.

5. Ekiwuugulu okuwuugulira ku nju, nnyinimu afa.

6. Nnamunyeenye bw'aba akaaba aba abika bubisi era bamutta bussi
Namunyeeye kiwuka kyagala okufaananako kikalumakkundi(kkongola mabeere)

7. Omuyaayu bwe gukaaba guba gubika era bagukasukira ekitawuliro ky'omuliro

8. Ssigga bwakaaba abeera abika era bamutta.

9. Omusajja agenze ku basawo ne bamulagula ne bamugaana okwebaka n'omukazi bw'agaana ne yeebaka n'omukazi bye bamulagudde tebituukirira

10. Omusajja asuliridde okugenda ku lutabaalo oba olugendo oba okusogola oba aba yasiye omwenge tasula na mukazi. Bw'akikola nga agenda ku lutabaalo afiirayo, agenda olugendo by'aba agenderera tabifuna, eyasiye omwenge gukenkuka.

avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

View previous topic View next topic Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum