New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

EBISOKO EBIRALA

Go down

EBISOKO EBIRALA

Post by sol_drethedon on Fri Mar 22, 2013 10:04 pm

Ebisoko ebirala

1. Okukwata enkoko omumwa--- kitegeeza kwata budde oba kkeera nnyo.

2. Okulya eggi kwesubya muwula --- kitegeeza kwefiriza kintu kyolifunamu mu dda

3. Okotakoota mu galumonde ----kino kitegeeza kumala biseera

4. Okutunula bijiijidde ng'embuzi ekaabira mu amalagala --- kitegeeza kutunuza nnaku nga ky'oyagala tokifunye

5. Okongojja omumbejja namaalwa oba omulangira segaamwenge --- kunywa kisusse(omwenge)

6. Okugangayira ---- kwekunywa n'otamiira nnyo

7. Okubuuza Ssalongo endeku ---kwekubuuza ekintu ekirabika

8. Okuba mu ky'abalongo ---kwekuba mu nzikiza

9. Okulya engoma --- kitegeeza kulya bwa Kabaka

10. Okuzza engoma --- kitegeeza kuwangula

11. Obudde okuvaako eddiba --- Budde kukya

12. Okusigala eddiba ---- kitegeeza kukogga

13. Okusula amaliba --- Kitegeeza kusula njala

14. Okulya amatereke --- Kitegeeza kufuna butakkaanya

15. Okulya mu ttama --- kitegeeza kuboggola

16. Okuliisa ebijanjaalo empisso --- kitegeeza buteefiirayo

17. Okulya omutima --- kitegeeza kwagala nnyo

18. Okulya ng'eyasimatuka kkunsa --- kulya nga tewebalira

19. Okweteeka mu bwakamulu --- kweraga

20. Okuzinisa akalevu --- kitegeeza kulya.


avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum