New kampala.net
Please Register to start posting and ask questions we here to serve You better
Long live Uganda!!!

LUGANDA PROVERBS

View previous topic View next topic Go down

LUGANDA PROVERBS

Post by sol_drethedon on Sun Mar 03, 2013 3:07 am



1. KAMWA KABI KASSA SIROGANGA

2. NANTABUULIRIRWA YASAABALA GWA BBUMBA

3. LINDA KIGGWEYO AFUMITA MUKIRA

4. SSERWAJJA OKWOTA AKIZA NYINIMU ENTANNAMA

5. BBUGU BBUGU SSI MULIRO

6. AMAMESE AMANGI TEGEESIMIRA BUNYA

7. ENYONYI ENKEEZE YEERYA OLUSIRINGANYI

8. EKITA EKITAVA KU SSENGEJJERO KIFUUKA WA NKINDO

9. EMBUULIRIRE TEFA YONNA

10. AMAANYI TEGALYA, SSINGA EMBAZZI YEEWATA

11. SSIFAAYO ABEERA MUSIRU

I2. ABAKISIMBA BEEBAAKIWOMESA

13. SEKAWUKA KAALI KAKULUMYE BWOKALABA OKADDUKA

14. ENSI EGULA MIRAMBO NGA TEMULI GUGWO.

15. NYINIMU W'ATALI EBIKERE BITEMBA ENJU.

16. BW'OSIKA EKITAJJA, DDIBA LYA NKOKO MU NGALO

17. EYETUUKIDDE TANYWA MATABANGUFU

18. AMALALA GAKULEMBERWA KIGO

19. AKAJJA OBUNAKU KEEMANYA, EJJANZI TERIBUUKA NA NZIGE

20. BWEBABA BABUULIRIRA OMWANA WA BOOBWO, NGA GWE OW'OMUNAKU OKUTU OKUNKUMULA.

21. ENSOWERA EKWAGALA Y'EKUGWA KU BBWA.

22. ERISO LY'OMUKULU, AWADDUGALA W'EWALABA

23. ATAKUMANYI NSUMIKA, BW'OGWA AKUYITA KADDUWANNEMA

24. AKUTWALA EKIRO OMUSIIMA BUKEDDE.

25. OBUMANYI BUKIRA OBUZIRA

26. NANYINI MUFU Y'AKWATA AWAWUNYA

27. KITTA AKIMANYIDDE, ENYANJA ETTA MUVUBI.

28. ATAKULEKERA N'AWE TOMULEKERA, ENYANJA EKUTTA OMIRA

29. KASAJJA KATONO OKANYOMERA MITALA W'AMUGGA

30. EKIWOMEREZE KIZAALA ENKENKU

31. KISO KYAMBUZI, KIREKA OMUSSI NE KITUNUULIRA OMUBAAZI

32. TONSIBAAKO MATU GAMBUZI KUNDIISA NGO.

33 . OTULO TW'OKUMAKYA Y'ENSIBUKO Y'OBWAVU

34. ANAAGWAGWAWALA ASOOKA KUTUNDA BIBYE.

35. OMUTWE GYEGUSULA, EBIGERE GYEBISOOKERA.

36. OBUGONVU BW'OLUJEGERE GE MAANYI G'ALWO

37. SSOSSOLYE BWATAFA ATUUKA KU LYENGEDDE

38. NNEEZIKOOKOLIMA GAALI MAGI

39. EKIJJ'OMANYI KINYAGA BITONO

40. BASAJJA MIVULE, GIWAATULA NEGIGGUMIZA

41. OMWANGU Y'ATTA ENSWA

42. KATONDA GWEY'AWADDE, N'ENNUME EZAALA

43. ERWANIRA EBUKO EKUUKA EJJEMBE

44. OMUKAZI MMESE, NEBW'EKULIRA MU NJU EBBA.

45. ANAAKUGOBA KU NSWA AKUGAMBA NTI TOLYA OMULALU

46. NYAMA NTONO OKAAYANA EKULI MU NKWAWA

47. NANTALABIKALABIKA NG'EZZIGA LY'EMPOLOGOMA

48. MBUULIRA GW'OYITA NAYE NKUBUULIRE EMPISA ZO

49. ABAGANDA BALI MU KULYA NGA ENO KATONGA AJUULA

50. OMUSAJJA MBWA, W'ALIIRA W'ALEKA EKYALIIRO

51. EMBWA ENJIZZI EZAALA ENKOLYA

52. EKITEEZAALA TEKYALA

53 . BW'EYINDA SSIBW'ETONYA

54. N'AZINA OBULUNGI AVA MU DDIIRO

55. OW'ENZINA MBI AZINIRA MU BABE.

56. ATAMUZADDE AMUTIKKA JJINJA

57. AWAAKULA ENNUME, TEWAAKULA EMU

58. OMUTO GY'AMANYI ENKUBA GY'ETONYA

59. AMAZIGA G'ENTE SSANYU LY'AMALEMBO

60. EBIKOLIMO BY'ENKOKO TEBITTA KAMUNYE

61. KAGENDERERE NG'OMUKADDE AKOGGA

62. BUKADDE MAGEZI TAKUBUULIRA KY'AMUKADDIYA

63. GW'OWONYA EGGERE Y'ALIKUSAMBYA

64. ZIKUSOOKA NEZITAKUVA MABEGA

65. AKAAKYAMA AMAMERA, BW'OKAGOLOLA KAMENYEKA BUMENYESI

66. ESSANYU LIMULINGA LY'AMWOKI WA GONJA

67. BWOGOBA MUSAJJA MUNNO OLEKAMU EZINADDA

68 MUSAJJA MUNNO BW'AKUSINGA EKYOYA TOGIYITA MPANAMA

69. AMAGEZI GAKUWEEBWA MUNNO

70. AKALIBA AKENDO OKALABIRA KU MUKONDA

71. NNAMUNSWA ALYA KU NSWA ZE

72. NSIBAMBI EDIBYA MUTERE

73. BEERA MUGUMU NG'ASULA WANSI

74. NKWATIRAAKO TEBUFUUKA BUMBOWA

75. SSAMBYASAMYAKO NG'OMUBI ALINYA OBULIRI.

76. ABAGANDA NKOBA ZA MBOGO, TEREMERERWA MASANGA GAAYO.

77. OMUMPI W'AKOMA W'AKWATA

78. OMUKALUKALU TAJJA BUSERA, AKUGAMBA BUNJOCCEZA WE NJAGALA.

79. AKUBA OWUWE AKUBA AWUMBA ENGALO

80. EBY'OMUNJU TEBITOTTOLWA

81. OMUKADDE WAAWANO TAYOMBA, NGA AKAZIINAAKE WEYAKALESE WEKALI

82. EYAWUKANA KU MUGENDO EFUUKA KAASA.

83. OMWANA OMUWALA ASERA NA NYINA

84. LUBAALE MBEERA NGA N'EMBIRO KW'OTADDE

85. ATANNAYITAYITA Y'ATENDA NYINA OKUFUMBA

86. AGALI AWAMU G'EGALUMA ENYAMA

87. OKALYA DDA KADDA DDA, EJJOBYO LIDDIRA MU NVIIRI.

88. OBULANGIRA BW'OMUKOPI KWEKORERA.

89. AKASUKKA OMUMIRO TEKADDA.

90. KOLA NG'OMUDDU OLY'ENGOMWAMI

100. ABAGAGGA BAGALANA ENVIIRI ZIREKERERA EBISIGE NEZIGENDA KU BIREVU.

101. WODDIZZA OMULALU MUKAAMA NG'OMULAMU OMULABA?

102. OLUGANDA KULYA, OLUGENDA ENJALA TERUDDA

103. ON'ALYA N'OLI ALYA Y'EMMERE EGENDA

104. KABI OBWOYA KALUNGI ENYAMA.

105. GALIMASANE ENTE ENZIRUGAVU OKUVAAMU AMATA AMEERU

106. AKEEZIMBIRA TEKABA KATO

107. AGATAWULIRA MUKAMA WAAGO GABIKKA NTEMBO.

108. EMBAGA ENYUMA KIRO, BWATAGENDA KULYA AGENDA KULWANA.

109. ATAMANYI MPEWO Y'EMAGOMBE Y'AMMA OMUFU OLUBUGO.

110. SSIYOLA NGAANGA GYESSIIRYEKO MAGI.

111. NEBIBIMBA BIKKA,EMPUNGU TERYA MU BIRE.

112. AGATAMBULA G'EGAKUBA

113. OGUTATEGANYA TEGUZZA NVUMA.

114. EBIYITA EKIRO NE KABAKA YETIKKA.

115. ATALUKUTAMBULIRE ENTANDA AKUSIBIRA Y'AMENVU

116. OLULUMA MUNNO TERUKULOBERA KWEBAKA

117. EMBWAYANGE TEBBA NG'EYISE KU GWA LWATABA

118. EBIBI BIKIRANA, OKWAGALA NYOKO OYAGALA NYAZAALA WO.

119. EKINAGGWAWO TEKIKUTUNUZA NG'ALIRA

120. YAKUZA MUTWE NGA MMALE

121. AKANAAFA TEKAWULIRA NGOMBE

122. KY'OSIMBA ONAANYA KY'OLYAKO ETTOOKE.

123. AKABWA KEWEYOLERA K'EKAKULUMA ENTEEGA.

124. BAKUSEERA TAKWAZIKA.

125. KYEMWAYAGALIZANGA EMBAZZI, KIBUYAGA ASUDDE

126 ......................................................................, AKAKONGE K'OKUKKUBO.

127. ATALIFA, ALIB'ANI

128. MPAAWO ATALIKAABA

129. EBIGOBERERA BIGOBERERWANGANA

130. GUNSINZE ALIWA BITONO.

131. AK'EZIMBIRA TEKABA KATO.

132. ERYOKANGA N'ETONYA NETULABA ENSIISIRA BWEZENKANYA EMYOYO

133. EKITAGGWAWO KIKUWA ENGABA.

134. ATAKOLE N'OKULYA T'ALIIRE

136. ATALIIWO TAGWIRWA MUTI.

137. BW'ONYIGIRIZA ENYO ENYINDO OGIREETA OMUSAAYI.

138. BW'OGENDA EBULYA MBWA OLYA MBWA

139. OW'EBBANGO BWOT'AMUWEMUKIRA TEWEBIKKA







































































avatar
sol_drethedon

Posts : 510
Reputation : 34
Join date : 2011-03-24

Back to top Go down

Re: LUGANDA PROVERBS

Post by hildacaslo on Sun Mar 03, 2013 9:26 pm

I like it indeed it feels home can some one explain these proverbs the first men whre wise indeed they deserve honor/ respect long live our motherland
avatar
hildacaslo

Posts : 38
Reputation : 7
Join date : 2009-11-22

Back to top Go down

Re: LUGANDA PROVERBS

Post by katolamech on Tue Mar 12, 2013 1:00 am

KAMWA KABI KASSA SIROGANGA: OYINZA OKWOGERA OBUBI KU MUNTU. OLUUSI NOTEGEEZA NGA BW'OYINZA N'OKUMULOGA NAYE NGA BAABUWE OYOGEZA BUSUNGU. OMUNTU OYO BW'AFA, ABANTU BAKWETIKKA NEBAKUGAMBA NGA BWEWAMWEWERERA. OKANYA KUWOZA NTI SIROGANGAKO NAYE NGA BUTERERE. EKIVAAWO NGA BAKUTTA. KWEKUVA ENJOGERA NTI KAMWA KABI KASSA SSIROGANGA.

katolamech

Posts : 42
Reputation : 4
Join date : 2013-03-06

Back to top Go down

Re: LUGANDA PROVERBS

Post by Sponsored content


Sponsored content


Back to top Go down

View previous topic View next topic Back to top


 
Permissions in this forum:
You cannot reply to topics in this forum